Habakkuk 2:9-11


9 aZimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi,
azimba ekisu kye waggulu,
okwekuuma obutatuukwako kabi!
10 bWategeka okuzikirira kw’abantu bangi,
n’oswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.
11 cAmayinja g’oku bbugwe galikaaba,
n’emikiikiro gy’ebibajje girikyasanguza.
Copyright information for LugEEEE